2 Samuel 3:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baziika Abuneri mu Keburoni; Dawudi yakangula eddoboozi n'akungubagira ku malaalo ga Abuneri, n'abantu bonna ne bakaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abuneeri n’aziikibwa e Kebbulooni, kabaka n’akaaba n’eddoboozi ddene awamu n’abantu bonna ku ntaana ya Abuneeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni; kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri n'aziikibwa mu Heburooni, kabaka n'atemera omulanga ku ntaana ya Abuneeri, n'akaaba amaziga, n'abantu bonna ne bakaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga.