2 Samuel 3:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emikono gyo tegyali misibe, n'ebigere byo tebyali biriggye mu nvuba. Wabula wafa ng'omuntu bw'afiira mu mikono gy'ababi.” Abantu bonna ne baddamu okumukaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emikono gyo tegyasibibwa, so n’ebigere byo tebyateekebwa mu masamba. Ng’omuntu bw’agwa mu maaso g’abo abatali batuukirivu, bwe wagwa bw’otyo.” Abantu bonna ne bamukungubagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba; Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo.” Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emikono gyo tegyabadde misibe, n'ebigere byo tebyabadde mu masamba. Wafudde ng'omuntu attiddwa abantu ababi.” Abantu bonna ne baddamu okukaabira Abuneeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba: Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo. Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.