2 Samuel 3:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bajja ne basindirira Dawudi alyeyo ku kantu nga bukyali misana, naye Dawudi n'alayira nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa nkomba ku mmere wadde akantu akalala konna ng'enjuba tennagwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma bonna ne bagezaako okuwaliriza Dawudi alye ku mmere ng’obudde bukyalaba, naye n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna, okutuusa enjuba ng’emaze okugwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne bajja okusikiriza Dawudi okulya ku mmere nga obudde bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti, “Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo lwonna abantu bonna ne beegayirira Dawudi alye ku mmere, kyokka ye n'alayira nti: “Katonda ankube nfe singa nkomba ku mmere oba ekyokulya kyonna ng'obudde tebunnaziba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne bajja okuliisa Dawudi emmere obudde nga bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa.