2 Samuel 3:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne Yisirayeli yenna ne bamanya ku olwo nti okuttibwa kwa Abuneri mutabani wa Neri tekwava ku Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ku lunaku olwo abantu bonna ne Isirayiri yenna ne bategeera nga kabaka teyasiima kuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Isiraeri bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Yisirayeli bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri, mutabani wa Neeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ne Isiraeri yenna ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.