2 Samuel 3:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Temulaba nti omulangira era omuntu omukulu ddala agudde olwa leero mu Yisirayeli?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba abantu be nti, “Temumanyi nga leero mu Isirayiri mufuddemu omukungu era omusajja omuzira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era ow'ekitiibwa mu Isiraeri afudde olwa leero?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era oweekitiibwa mu Yisirayeli afudde olwaleero?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agamba abaddu be nti Temumanyi nga mu Isiraeri mugudde leero omusajja omukulu era ow'ekitiibwa.