2 Samuel 3:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde nsiigiddwa mbeere kabaka, naye nkyali munafu; abasajja bano batabani ba Zeruya bakyansinziza wala amaanyi. Omukama aweere akoze akabi ng'agerera ku kabi k'akoze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era leero, newaakubadde nga nze kabaka eyafukibwako amafuta, ndimunafu olw’abaana ba Zeruyiya abampitiriddeko obukakanyavu. Mukama asasule bw’atyo omukozi w’ebibi olw’ebikolwa bye!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga nnafukibwako amafuta okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gyendi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ng'obubi bwe, bwe buli!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga nafukibwako omuzigo okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gye ndi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ekimugwanira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange leero ndi munafu newakubadde nga nfukiddwako amafuta okuba kabaka: n'abasajja bano batabani ba Zeruyiya bannyinze obukakanyavu: Mukama asasule akoze ekibi ng'obubi bwe bwe buli.