2 Samuel 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga ennyumba ya Sawulo we yalwanaganiranga n'ennyumba ya Dawudi, Abuneri mutabani wa Neri yali yeeyongera okwenyweza mu nnyumba ya Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entalo n’enkaayana nga zikyagenda mu maaso wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi, Abuneeri n’anyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi; mu nnyumba ya Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, abawagira ennyumba ya Sawulo nga bakyalwanagana n'abawagizi ba Dawudi, Abuneeri ne yeeyongera okuba ow'amaanyi mu b'oludda lwa Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi mu nnyumba ya Sawulo.