2 Samuel 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yalina omusebeyi, nga ye Rizupa, muwala wa Aya. Olumu Yisi-Boseti yagamba ku Abuneri nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo yalina omuzaana erinnya lye Lizupa muwala wa Aya. Isubosesi n’abuuza Abuneeri nti, “Lwaki weetaba n’omuzaana wa kitange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya; Isubosesi n'abuuza Abuneeri nti, “Lwaki wegatta n'omuzaana wa kitange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo yalina omukazi erinnya lye Rizupa, muwala wa Aya. Awo Yisiboseti n'agamba Abuneeri nti: “Lwaki otwala muka kitange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'agamba Abuneeri nti Kiki ekikuyingizizza eri muzaana wa kitange?