2 Samuel 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki oganza musebeyi wa kitange?” Abuneri n'asunguwala nnyo olw'ekyo Yisi-Boseti kye yayogera, n'ayanukula nti: “Olowooza ndi mutwe gwa mbwa, ndi wa Yuda? Na kati mbadde nkyagirira ekisa ennyumba ya kitaawo Sawulo ne baganda be ne mikwano gye; saakuwaayo mu mikono gya Dawudi, naye ggwe olwa leero onvunaana ekibi ekyekuusa ku mukazi ono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abuneeri n’asunguwala nnyo olw’ekigambo Isubosesi kye yamugamba, n’amuddamu nti, “Nze mutwe gw’embwa ya Yuda? Mbadde wa kisa eri ennyumba ya kitaawo Sawulo, n’eri baganda be, ne mikwano gye, ne sibawaayo mu mukono gwa Dawudi. Kaakano onteekako omusango olw’omukazi oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti, “Olowooza ndi mutwe gwe mbwa ya Yuda? Okutuusa kaakati mbadde ku ludda lw'ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, kyokka onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo Yisiboseti bye yayogera ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, era n'amukayukira ng'agamba nti: “Olowooza ndi muweereza wa ludda lwa Yuda? Okutuusa kati mbadde mpagira ab'oludda lwa Sawulo kitaawo, baganda be ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mikono gya Dawudi, naye n'onvunaana omusango ogwekuusa ku mukazi oyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo.