2 Samuel 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneri yali afiiridde e Keburoni, emikono ne gimulagaya, ne Yisirayeli yenna n'atengera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira nga Abuneeri bamutidde e Kebbulooni naatya nnyo, n'Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisiboseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneeri bamuttidde mu Heburooni, n'atya nnyo, n'abantu b'omu Yisirayeli bonna ne beeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng'afiiridde e Kebbulooni, emikono gye ne giyongobera, Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.