2 Samuel 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga oli eyandeetera amawulire nti: ‘Sawulo afudde,’ amale alowooze nti aleese mawulire ga ssanyu, namukwata ne mmutta e Zikulagi, ng'ekyo kye kirabo kye namuwa olw'amawulire ago,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka n'amukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye n'amuwa olw'amawulire ge ago!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka namukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye namuwa olw'amawulire ge ago!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuntu bwe yambuulira nti Laba, Sawulo afudde, ng'alowooza okuleeta ebigambo ebirungi, awo ne mmukwata ne mmuttira e Zikulagi, ye mpeera gye nnamuwa olw'ebigambo bye.