2 Samuel 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
leero alabisa kati ng'abantu ababi basse omuntu ataliiko musango nga yeebase mu nnyumba ye ku kitanda kye! Omusaayi gwe siigulondoole mu mikono gyammwe, ne mbaggyawo ku nsi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Sisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Isubosesi, ne mbasanyaawo ku nsi kuno?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Siisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Yisiboseti, ne mbasaanyaawo ku nsi kuno?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, abantu ababi nga battidde omuntu omutuukirivu mu nnyumba ye ku kitanda kye, sirisinga nnyo kaakano kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwammwe, ne mbaggya ku nsi?