2 Samuel 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'alagira abasajja be ne babatta. Baabatemako emikono n'ebigere, ne bawanika emirambo gyabwe ku kidiba ky'e Keburoni. Gwo omutwe gwa Yisi-Boseti ne baguziika mu ntaana ya Abuneri mu Keburoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta Lakabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Ne batwala omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri e Kebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alagira balenzi be, ne batta Rekabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba ky'omu Heburooni. Ne batwala omutwe gwa Yisiboseti, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri mu Heburooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta ne babasalako engalo n'ebigere ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.