2 Samuel 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abagabe b'ebikwanga ebyaya, omu nga ye Baana, omulala nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni ow'ekika kya Benyamiini; anti Beeroti kyatwalibwanga ng'ekibuga kya Benyamiini,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri (2) abaami b'ebibiina; omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri ng'erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini; Beerosi kyali kitundu kya Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisiboseti yalina abakungu be babiri, abaakuliranga entabaalo, ng'omu erinnya lye Baana, n'owookubiri nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni Omubeeroti, ow'omu Kika kya Benyamiini. (Beeroti kibalibwa mu kitundu kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abaami b'ebibiina: omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini: (kubanga ne Beerosi kibalirwa Benyamini: