2 Samuel 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi eyali akuuma omulyango otulo twali tumukwatidde ku ŋŋano gye yali awewa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde ng'abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Lekabu ne muganda we Baana ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Rekabu ne muganda we Baana ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajjayo wakati mu nnyumba ng'abaagala okukima eŋŋaano; ne bamufumita olubuto: Lekabu ne Baana muganda we ne bawona.