2 Samuel 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayanukula Rekabu ne Baana muganda we, batabani ba Rimmoni Omubeeroti nti: “Mazima Omukama nga mulamu, eyamponya mu bizibu byonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abaddamu nti, “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abaddamu nti: “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'addamu Lekabu ne Baana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi, n'abagamba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange mu kulaba ennaku kwonna,