2 Samuel 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yamala okuva mu Keburoni n'awasaayo abasebeyi n'abakazi abalala mu Yeruzaalemu. Dawudi yazaalirwa abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni; Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yamala okuva mu Heburooni n'abeerera ddala mu Yerusaalemu, ne yeeyongera okuwasa abakazi. N'azaala abaana abalala bangi ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.