2 Samuel 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini bwe baawulira nti Dawudi bamusiize abeere kabaka wa Yisirayeli yenna, ne bambuka bonna bamunoonye. Dawudi bwe yawulira, n'aserengeta mu kigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi bamaze okumufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; naye Dawudi n'akiwulira ne yeekweka mu mpuku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya bwe baawulira nti Dawudi afukiddwako omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, bonna ne bagenda bamuyigge. Dawudi bwe yakiwulira, ne yeekweka mu mpuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga bamaze okumufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; Dawudi n'akiwulira n'aserengeta mu mpuku.