2 Samuel 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Nnyambuke eri Abafilisitiini? Onoobampa mu mikono gyange?” Omukama n'agamba nti: “Yambuka, kubanga kwo okuwa nzija kukuwa Abafilisitiini mu mikono gyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti, “Nnyambuke eri Abafirisuuti? On'obagabula mu mukono gwange?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Yambuka; kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'addamu nti: “Genda. Ddala nja kukusobozesa okubawangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti Nnyambuke eri Abafirisuuti? on'obagabula mu mukono gwange? Mukama n'agamba Dawudi nti Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.