2 Samuel 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusooka, Sawulo bwe yali akyali kabaka waffe, ggwe wali omukulembeze wa Yisirayeli mu ntabaalo zaabwe. Omukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onoolunda abantu bange Yisirayeli, ggwe onooba omukulembeze wa Yisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntalo. Mukama n'akugamba nti, ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Isiraeri, era onoobanga mufuzi wa Isiraeri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro eby'edda Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Abayisirayeli, era ggwe onoobanga omufuzi wa Yisirayeli.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wafulumya n'oyingiza Isiraeri: Mukama n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba mukulu wa Isiraeri.