2 Samuel 5:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ajja mu Baali-Perazimu n'abakubira eyo, n'agamba nti: “Ng'amazzi bwe gawaguza, n'Omukama bw'awaguzza mu balabe bange mu maaso gange.” Ekifo ekyo kwe kuyitibwa Baali-Perazimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “ Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ajja e Baalu-perazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gawaguzza ne gaanjaala. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baaluperazimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agenda e Baali-Peraziimu n'awangulirayo Abafilistiya, n'agamba nti: “Mukama amenye abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Baali-Peraziimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ajja e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gamenya. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baalupera.