2 Samuel 5:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini baalekayo ebifaananyi bya balubaale baabwe, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafirisuuti bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'abasajja be ne babitwala.