2 Samuel 5:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoowulira ebigere waggulu mu miti gya balusaamu, awo ng'ositukiramu, kubanga oyo ajja kubeera Mukama ng'akukulembeddemu okukuba olusiisira lw'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka ogolokoka: kubanga awo Mukama ng'akukulembedde okukuba eggye ly'Abafirisuuti.