2 Samuel 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akola ng'Omukama bwe yali amulagidde, n'akuba Abafilisitiini okubaggya e Gibewoni okutuuka e Gezeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira, era n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa e Gezeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'agenda ng'atta Abafilistiya okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira; n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa lwe yatuuka e Gezeri.