2 Samuel 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde ba Yisirayeli bwe bajja ewa kabaka Dawudi mu Keburoni, kabaka n'akola nabo endagaano mu maaso g'Omukama, ne bamusiiga omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bajja mu Heburooni eri kabaka. Dawudi n'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.