2 Samuel 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agenda ne basajja be e Yeruzaalemu okulumba Abayebusi abaabeeranga mu nsi eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira wano; ggwe bamuzibe n'abalema bayinza n'okukugoba.” Nga bategeeza nti: “Dawudi taayingire wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira ekibuga ekyo. Kye baava bamugamba nti, “Toliyingira mu kibuga kino kubanga bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka ne basajja be ne bagenda e Yerusaalemu okulwanyisa Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira kibuga ekyo. Kyebaava bamugamba nti: “Toliyingira mu kibuga kino kubanga ne bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abaatuula mu nsi: abaagamba Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maaso n'abawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tayinza kuyingira muno.