2 Samuel 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Dawudi yagamba nti: “Buli yenna anatta Omuyebusi, alina kuyita mu mukutu gw'amazzi, atuuke abalema abo n'abazibe b'amaaso, abo omutima gwa Dawudi be gwakyawa.” Olugero kyeruva lugamba nti: “Muzibe n'omulema tebaliyingira mu lubiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti, “Buli anatta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte abazibe b'amaaso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi bekyawa.” Kyebaava boogera nti, “Waliwo abazibe b'amaaso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli ayagala okutta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte bamuzibe n'abalema abo Dawudi b'akyawa.” Kyebava bagamba nti: “Bamuzibe n'abalema tebayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti Buli anatta Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo atte abazibe b'amasso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi b'ekyawa. Kyebaava boogera nti Waliwo abazibe b'amasso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.