2 Samuel 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ekisulo kye n'akissa mu kigo, n'akiyita Kibuga kya Dawudi; n'azimba okukyetooloola, okuva ku Millo n'okudda munda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo n'akituuma erinnya “Ekibuga kya Dawudi” era n'azimba okukyetooloola okuva e Miiro n'okudda munda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo, n'akibeeramu era n'akituuma erinnya: “Ekibuga kya Dawudi.” N'azimba mu kifo ekyo okwetoolooza, ng'atandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, n'okudda munda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'abeera mu kigo n'akiyita ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'okuzza munda.