2 Samuel 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atayagala kukyamya Ssanduuku ya Mukama wuwe mu Kibuga kya Dawudi, wabula n'agitwala mu nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agaana okutwala essanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agaana okutwala Ssanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atayagala kujjulula ssanduuko ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.