2 Samuel 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku y'Omukama n'emala mu nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti emyezi esatu, Omukama n'awa omukisa Obedi-Edomu n'ennyumba ye yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu (3), mu nnyumba ya Obededomu Omugitti; Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu, Mukama n'awa omukisa Obededomu Omugitti n'ab'omu nnyumba ye bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu Omugitti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna.