2 Samuel 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali batwala Ssanduuku y'Omukama bwe baatambulako ebigere mukaaga, n'atambira ente n'ennyana ensavuwaze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga (6), n'awaayo ente n'ekya ssava.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaasitula Essanduuko ya Mukama bwe baali batambuddeko ebigere nga mukaaga, Dawudi n'atambira eri Mukama ente ennume n'ennyana ensava.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga, n'awaayo ente n'ekya ssava.