2 Samuel 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yali azina n'amaanyi ge gonna mu maaso g'Omukama; yali yeesibye efodi ey'olugoye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'azina n'amaanyi ge gonna mu maaso ga Mukama nga yeesibye efodi enjeru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.