2 Samuel 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ennyumba yonna eya Yisirayeli baali batwala Ssanduuku y'Omukama n'obuluulu n'amaloboozi ag'eŋŋombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne batwala Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu Yerusaalemu, nga baleekaana olw'essanyu era nga bafuuwa amakondeere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere.