2 Samuel 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku y'Omukama bwe yali eyingira mu Kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'atunula wansi ng'ayima mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi nga yeebuukiza, azina mu maaso g'Omukama, n'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka Essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama. N'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)