2 Samuel 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayingiza Ssanduuku y'Omukama ne bagissa mu kifo kyayo, munda mu weema Dawudi gye yali agisimbidde; Dawudi n'aweereza mu maaso g'Omukama ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde; Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayingiza Essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo, wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde. Dawudi n'awaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde: Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.