2 Samuel 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agabula akeesedde k'Abayisirayeli, buli omu, omusajja n'omukazi, n'abawa kakkeeki, ekitole ky'empirivuma kimukimu n'ekitole ky'emizabbibu emiwotose. Oluvannyuma abantu bonna ne bagenda buli omu ewuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agabula abantu bonna ebyokulya. Buli musajja n'omukazi ow'omu Yisirayeli n'afuna omugaati, n'omugabo gw'ennyama, n'ekitole eky'ebibala by'emizabbibu ebikaze. Awo buli muntu n'addayo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)