2 Samuel 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asitula, n'agenda ne basajja be bonna okuva e Baala ekya Yuda, baggyeyo Ssanduuku ya Katonda eyitibwa erinnya ly'Omukama w'Amagye awaŋŋamye wakati mu bakerubi abagiriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abasajja bonna be yali nabo n'agenda e Baale eky'omu Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda ey'endagaano eyitibwa Erinnya ly'ennyini; Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakulembera okugenda e Baale eky'omu kitundu kya Yuda okuggyayo Ssanduuko ya Katonda ey'Endagaano, eyitibwa erinnya lya Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe y'obwakabaka waggulu wa Bakerubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawudi n'agolokoka n'agenda n'abantu bonna abaali naye, okuva e Baale Yuda okuggyayo ssanduuko ya Katonda okugirinnyisa, eyitibwa Erinnya lyennyini, erinnya lya Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi.