2 Samuel 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yakomawo awe omukisa ennyumba ye, Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okumwaniriza. N'agamba nti: “Olwa leero kabaka wa Yisirayeli nga yeewadde ekitiibwa, ne yeeyambula mu maaso g'abazaana n'abaweereza be, ne yeeyisa ng'omukopi bwe yandikoze!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti, “Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yaddayo ewuwe okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa, Mikali n'afuluma okumusisinkana n'agamba nti: “Kabaka wa Yisirayeli ng'abadde wa kitiibwa olwaleero! Okweyisa ng'omusajja omugwenyufu bwe yeeyisa, n'atambula nga yeeyambudde mu maaso g'abazaana b'abaweereza be!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!