2 Samuel 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Mikali nti: “Nzija kuzinira Omukama eyalondawo nze n'alekawo kitaawo oba omuntu omulala yenna mu nnyumba ye, n'anteekawo mbeere omukulembeze w'abantu b'Omukama, Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Mikali nti, “Ky'abadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri; kyenaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'addamu Mikali nti: “Mbadde nzinira mu maaso ga Mukama eyannonda n'ansukkulumya ku kitaawo n'ab'ennyumba ye yonna, okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli. Era kyennaavanga nzinira mu maaso ga Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Mikali nti Kyabadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyennaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama.