2 Samuel 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwefeebya n'okusingawo, nange nze nzennyini nenyoome; kyokka mu maaso g'abazaana b'oyogeddeko nzija kulabika nga ndi wa kitiibwa okusingawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era n'abanga anyoomebwa mu maaso gange nze; naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nneeyongera okwemalamu ekitiibwa n'okusingawo, mbe anyoomebwa mu maaso gange, naye abazaana abo b'oyogeddeko balinzisaamu ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era naabanga anyoomebwa mu maaso gange nze: naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.