2 Samuel 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku ya Katonda ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu eyali ku kasozi, ne bagissa ku kigaali ekipya. Wuzza ne Akiyo, batabani ba Abinadabu be baali bagoba ekigaali ekiggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi; era Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssanduuko ya Katonda ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu eyali ku lusozi, ne bagiteeka ku kigaali ekiggya. Batabani ba Abinadabu, Wuzza ne Ahiyo, ne bavuga ekigaali ekiggya
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi: Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya.