2 Samuel 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne Yisirayeli yenna baali bazinira mu maaso g'Omukama n'amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ku nnanga, entongooli, obugoma, ensaasi n'ensaazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ennyumba eya Isiraeri yonna ne bakuba ebivuga mu maaso ga Mukama eby'emiti eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli, ebitaasa, ensaasi n'ebisaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina mu maaso ga Mukama nga bakuba ebivuga eby'emiti emiberosi ebya buli ngeri, n'ennanga n'entongooli, n'eŋŋoma n'ebitaasa n'ensaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne bakubira mu maaso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli n'ebitaasa n'ensaasi n'ebisaala.