2 Samuel 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Wuzza; Katonda n'amukubira awo olw'obujoozi bwe. N'afiira awo kumpi n'Essanduuku ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali essanduuko ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira Wuzza, n'amuttirawo, kubanga yeeyitiriza n'akwata ku Ssanduuko Ey'Endagaano. Wuzza n'afiira awo awali Ssanduuko ya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda.