2 Samuel 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'Omukama ng'amuwadde akalembereza ku balabe bonna abaali bamwetoolodde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka Dawudi n'akkalira mu lubiri lwe, era Mukama n'amuwonya okutawaanyizibwa abalabe be bonna abamwetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,