2 Samuel 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukolera abantu bange Yisirayeli ekifo, mbasse omwo, babeerenga omwo, nga tebakyaddayo kutawaanyizibwa. Ababi tebaliddayo kubabonyaabonya nga bwe baakola mu masooka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntegekedde abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era ng'abantu ababi tebakyababonyaabonya
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,