2 Samuel 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era nga bwe babadde bakola okuva ku lunaku lwe nassaawo abalamuzi ku bantu bange Abayisirayeli. Nzija kukuwa akalembereza ku balabe bo bonna. Era Omukama akugambye nti: Omukama kennyini ajja kukuzimbira ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya. “ ‘ “ Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era Mukama nate akubuulira nti alikwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe gwali we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndikuwonya okutawaanyizibwa abalabe bo bonna. N'ekirala Nze Mukama nkugamba nti: ndikwaliza ezzadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era nate Mukama akubuulira nga Mukama alikukolera ennyumba.