2 Samuel 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zo bwe ziriba zituuse, n'ogalamira ne bajjajjaabo, ndisitusawo ezzadde lyo eririkusikira, omwana gwe weezaalidde wennyini, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo omu ku baana bo okuba kabaka era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku zo bwe ziriggwaako, n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku baana bo be weezaalira, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe.