2 Samuel 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibeera kitaawe, naye alibeera mwana wange. Bw'aliba aliko ky'akoze ekikyamu, ndimubonereza n'omuggo abantu gwe beeyamba, ndimukuba ng'abantu bwe bakuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anakolanga ekitali kituufu, naamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anaakolanga ekitali kituufu, nnaamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ndiba kitaawe naye aliba mwana wange: bw'anaabanga ng'akoze ekitali kya butuukirivu, naamukangavvulanga n'omuggo ogw'abantu n'enga ez'abaana b'abantu;