2 Samuel 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayingira, n'atuula mu maaso g'Omukama, n'agamba nti: “Nze ani, ayi Mukama Omuyinza, n'ennyumba yange kye ki, okulaba ng'ontuusizza wano?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Mukama, n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti, “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?