2 Samuel 7:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Omuyinza, olabye nga kino ekikyali ekitono, n'oyogera ne ku nnyumba y'omuweereza wo gye bujja. Bw'otyo bw'oyisa omuntu, ayi Mukama Omuyinza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi Mukama Katonda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'ekyo Ayi Mukama Katonda kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubiza bingi ezzadde lyange. Ayi Mukama Katonda era n'ekyo okimanyisizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'ekyo, ayi Mukama Katonda, kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubizza bingi ezzadde lyange ery'omu maaso. Kale ekyo okimanyisa omuntu, ayi Mukama Katonda!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyo ne kiba nga kikyali kigambo kitono mu maaso go, ai Mukama Katonda; era naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo okumala ebiro bingi ebiribaawo; n'ekyo ng'engeri y'abantu bw'eri, ai Mukama Katonda!